2 Chronicles 19

1Awo Yekosafaati kabaka wa Yuda n’akomawo mirembe mu lubiri lwe mu Yerusaalemi. 2 aYeeku, Omulabi, mutabani wa Kanani n’agenda okumusisinkana, n’agamba Yekosafaati nti, “Kituufu ggwe okuyamba ababi, ate n’okukolagana n’abo abakyawa Mukama? Olw’ekikolwa ekyo, obusungu bwa Mukama kyebuvudde bukubuubukirako. 3 bKyokka mu ggwe mulimu ebirungi, kubanga wazikiriza Baaserosi n’obaggya mu nsi, n’omalirira mu mutima gwo okunoonya Katonda.”

Yekosafaati Alonda Abalamuzi

4Awo Yekosafaati n’abeeranga mu Yerusaalemi, n’addayo eri abantu okuva e Beeruseba okutuuka mu Efulayimu mu nsi ey’ensozi, bonna n’abakomyawo eri Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe. 5 cN’alonda abalamuzi mu nsi, ne mu buli kibuga kya Yuda ekiriko Bbugwe. 6 dN’abategeeza nti, “Mufumiitirize nnyo ku bye mukola, kubanga temulamula ku bw’abantu wabula ku bwa Mukama, abeera nammwe buli bwe musala omusango. 7 eNoolwekyo entiisa ya Mukama ebeere mu mmwe, musale omusango nga mugwekanyizza bulungi, kubanga Mukama Katonda waffe takkiriziganya na butali butuukirivu, era tewali kusosola mu bantu wadde okulya enguzi.”

8 fAte ne mu Yerusaalemi Yekosafaati yalonda abamu ku Baleevi, ne bakabona, n’emitwe gy’ennyumba za Isirayiri okulamulanga ku bwa Mukama, n’okusalangawo ensonga enzibu. 9N’abakuutira ng’agamba nti, “Mukole nga mutya Mukama, n’obwesigwa era n’omutima gumu. 10 gBwe wanaabangawo ensonga evudde eri baganda bammwe okuva mu bibuga byabwe, ng’ekwata ku kuyiwa omusaayi, oba ku nsonga endala yonna ekwata ku kiragiro, ku mateeka oba ku biragiro, munaabalabulanga obutayonoona Mukama, obusungu bwe muleme okubatuukako mmwe ne baganda bammwe. Bwe mutyo bwe munaakolanga muleme okubaako omusango.

11 h“Era Amaliya kabona asinga obukulu y’anaababeerangako n’obuvunaanyizibwa mu nsonga zonna eza Mukama, ate Zebadiya mutabani wa Isimayiri omukulu ow’ekika kya Yuda ye n’avunaanyizibwanga mu nsonga zonna eza kabaka, era n’Abaleevi banaaweerezanga ng’abaami mu maaso gammwe. Mube n’obuvumu, era Mukama abeere n’abo abakola obutuukirivu.”

Copyright information for LugEEEE